Connect with us

News

UGANDA MARTY’S NAMUGONGO SSS EWEZEZA EMYAKA 56 BUKYA ETANDIIKA MINISITA MUYINGO ABATENDEREZA

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

MINISTER MU GAVUMENTI EYAWAKATI AVUNANYIZIBWA KU MATENDEKERO AGA WAGGULU OWEK HON DR JOHN CHRYSOSTOM MUYINGO AGUGUMBUDDE AMASOMERO AGAKYAGANYE OKUTEEKA MU NKOLA ENSOMESA EMPYA KU MUTENDERA GWA SENIOR (NEW CURRICULUM) GAVUMENTI EYAWAKATI GYEYALEETA OKUYAMBA ABAYIZI OKUFULUMA NGA BALINA OBUKUGU OBUSOBOLA OKUBAYAMBA MU BULAMU BWAABWE, NGA MINISTER MUYINGO AGAMBA AMASOMERO MANGI NADDALA AG’OBWANANNYINI GAKYEKWASA OBUSONGASONGA N’ASABA AMASOMERO GONNA OKWERANAKO GATEEKE MU NKOLA ENTEEKATEEKA ENO.

MINISTER MUYINGO ASINZIDDE KU SSOMERO LYA UGANDA MARTYRS SS NAMUGONGO GY’ABADDE OMUGENYI OMUKULU KU BIKUJJUKO EBY’EMYAKA 56 BUKYA SSOMERO LINO LITANDIKIBWAWO ERA N’ATENDEREZA EKELEZIA KATOLIKA OLW’ENKOLAGANA ENNUNGI NE GAVUMENTI GY’AYOGEDDEKO NGA EVUDDEMU OKUTUMBULA EBY’ENJIGIRIZA EBY’OMUTINDO MU GGWANGA.

ALSO READ  Nyamuga Queen: Zari’s unaging love for herself

Minister Muyingo Namugongo

YE MSGR GERALD KALUMBA OMU KU BA VICAR GENERAL MU SSAZA EKKULU ERYA KAMPALA ERA NGA YE SSENTEBE W’OLUKIIKO OLUFUZI OLW’ESSOMERO LINO ONO ERA NGA Y’AKULEMBEDDEMU EKITAMBIRO KYA MISA AGAMBA YEKOKKODDE ABAZADDE ABALEMEREDDWA OKUFUNIRA ABAANA BAABWE OBUDDE MU MAKA OKUBALAMBIKA N’OKUBAGUNJURA MU MPISA ENNUNGI, OLWO NEBABALEKERA SOCIAL MEDIA, EKOMEKKEREZZA NGA EYONOONYE ABAWERAKO.

MSGR Kalumba bazadde.

YE OMUKULU W’ESSOMERO LINO REV.FR. DR.HENRY KASASA YEBAZIZZA BONNA ABAKWATIDDEKO ESSOMERO LINO OKUVA MU 1967 LWERYATANDIKIBWAWO NGA MU BANO MULIMU N’ABADDE OMUGENYI OMUKULU OWEK HON DR JC MUYINGO EYALI OMUKULU W’ESSOMERO LINO OKUMALA EMYAKA 18 OKUVA MU 1992 PPAKA MU 2010,ERA N’ATEGEEZA NGA ESSOMERO BWERIBAKANYE N’ENTEEKATEEKA EYOKUZIMBA ESSOMERO ERYOKUBIRI NADDALA NGA OMUWENDO GW’ABAANA ABASABA OKUYINGIRA GUBASUKKAKO OBUNGI NGA OMWAKA GUNO BAAFUNA ABAANA 3000 ABAASABA OKUYINGIRA MU SENIOR ESOOKA ( S.1) KYOKKA BAAWAAKO 600 BOKKA.

Advertisement

Byte HM REV FR KASASA.

ALSO READ  Just In: COU Archbishop Kazimba makes surprise Visit at Luweero Diocese Headquarters

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending