Connect with us

Celebrity News

TUFEEYO NYO KUBAANA ABOBULENZI SSABASUMBA SSEMOGERERE AWABUDDE NGA ST CYPRIAN KYABAKADDE EWEZA 25

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

SSAABASUMBA OW’ESSAZA EKKULU ERYA KAMPALA BISHOP PAUL SSEMWOGERERE, ATENDEREZZA EMIRIMU EMINJI EGYO EGYAKOLEBWA OMUGENZI EYALI SSAABASUMBA OW’ESSAZA EKKULU ERYA KAMPALA DR. CYPRIAN KIZITO LWANGA NADDALA MU KISAAWE EKY’EBYENJIGIRIZA , NGA YATANDIKAWO N’ESSOMERO LYA ST. CYPRIAN HIGH SCHOOL KYABAKADDE, ERIWADDE BANNAYUGANDA BIKUMI NABIKUMI EMIRIMU, AWAMU N’OKUGUNJULA ENKUMI N’ENKUMI Z’ABAYIZI BANNAYUGANDA.

BISHOP PAUL SSEMWOGERERE ASINZIDDE KU BIKUJJUKO EBY’EMYAKA 25 EGY’ESSOMERO LYA ST. CYPRIAN HIGH SCHOOL KYABAKADDE BWEYABADDE AKULEMBEDDEMU EKITAMBIRO KYA MISA, ERA N’ALAGA NGA BWEWALIWO OBWETAAVU ERI ABAZADDE, AMASOMERO NABULI AKWATIBWAKO OKWONGERA AMAANYI MU KUYAMBA OMWANA OW’OBULENZI OKWONGERA OKUYITA MU KUSOOMOOZA OKWENJAWULO NGA BWEKIRI KU MWANA OW’OBUWALA, NADDALA MU KISEERA KINO NGA EMIZE N’OBUWANGWA EBY’OBULABE BYONGERA OKUVA EMITALA W’AMAYANJA ERA NGA BIKOSEZZA NNYO ABAANA ABALENZI MU

ALSO READ  pay me 2 billions as Compensation Alison Anna Nadiope demands Kyabazinga hours to wedding day

KISEERA KINO

. Byte Bishop SSEMWOGERERE on Bishop Cyprian.YE OMUKULU W’ESSOMERO LINO KAMYA JOSEPH AGAMBA ESSOMERO LINO LISOBODDE OKUGUNJULA ABAANA MU MPISA, MU DDIINI, MU BY’ENSOMA N’EBIRALA, MU BBANGA ERY’EMYAKA 25 EGIYISE .

HM KAMYA ON 25 YEARS.YE OMUKULU W’ESSOMERO LYA ST. CYPRIAN HIGH SCHOOL EYASOOKA LAWRENCE MUWONGE NE SSENTEBE W’OLUKIIKO OLUFUZI OLWA BOARD OLW’ESSOMERO EYASOOKA JOHN BOSCO MUJUMBA BAASIIMYE NNYO ABO ABAABADDIRA MU BUGERE OLW’OKUKUUMA OMUTINDO KWEBAATANDIKIRA ESSOMERO LINO.

HM MUWONGE AND MUJUMBA.OMUKOLO GWETABIDDWAKO ENKUMI N’ENKUMI ZABANTU MU BITI EBY’ENJAWULO, ERA WALIWO N’EKIZIMBE GGAGGADDE EKY’EMYAALIIRO ESATU EKIGGUDDWAWO NADDALA OKUYAMBA KU BY’ENSOMA BYA SCIENCE
Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending