Connect with us

National News

Temukiliza Matendekero Gatali Mateeka Minisita Muyingo Ayogedde Kubasawo

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Minister Omubeezi ow’amatendekero agawagulu Dr.JC Muyingo yenyamidde olw’omuze gwokuba ebigezo ogweyongedde naddala mu matendekero aga wagulu.Bino abyogedde enkya ya leero bwabadde afulumya ebigezo bya basawo na bazaalisa eby’ekitongole ki UNMEB ( Uganda Nurses and mid wives Examinations Board) ebya June 2023 ku office ya prime minister mu Kampala.

Muyingo asabye abakulira amattendekero okuttira ku liiso abayizi ababera tebamazeeyo bisale bya ssomero nga babakiriza batule ebigezo byabwe ebyakamalirizo nga bwanyonyola.Muyingo era alabudde amattendekero agasomesa abasawo agatalina bisanizo okufaayo okutukiriza byona ebyetagisa omuli nokufuna license ezibakiriza okusomesa abasawo era asabye abakugu mu kulondoola amasomero bayite ba Inspectors, okufaayo okulondoola amattendekero gano okulaba nga gatukagana n’omutindo.Minisita Muyingo asinzidde wano nasazaamu ebigezo by’abayizi bona ebenyigira mu ku kkopa ebigezo kisobozese okufulumya abasawo abatali bakibogwe.Oluvanyuma Minisita Muyingo afulumiza ebigezo byabasawo ebya June 2023.

ALSO READ  Mubeere Bavumu Temutya,Rev Father Wamala Asabidde Aba S4 ya Seeta High School.

Wakaida John Kennedy Chairperson UNMEB alopedde Minisita amattendekero agasusse okumelukawo okusomesa abasawo songate gaba tegatukanye namutindo ku somesa basawo nga bwanyonyola.Okusinzira ku muwandiisi wa UNMEB Helen Mukakarisa Kataratambi nga yalambuludde ku byavudde mu bigezo bya basawo, ategezeza ng’abayizi 50,942

bebawandisibwa okola ebigezo bya UNMEB mu June womwaka guno okuva mu matendekero 123 nga kumulundi guno abayizi abawala balebeza abalenzi nga ku mulundi guno abayizi bayitidde waggulu okusingako ku mwaka oguwedde.Kataratambi era agamab ku bayzi 50942, abayizi 383 tebalabikako kola bigezo nga ezimu kunsonga ezabalemesa okutula ebigezo bino mwemuli nobutamalayo bisale by’amattendekero nendala.

ALSO READ  Abawayiliza Rev Canon Godfrey Kasana Nasazibwamu Basattila Laba bwebasobedwa

Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending