Connect with us

News

Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll Aguddewo olukiiko olwa 31 Abakutiidde

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

👉🏿BUGANDA: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agguddewo Olukiiko Olwa 31 olwa Buganda.

👉🏿Bino wammanga byebimu kyabyayogedde; “Tuyozaayoza abaami abalondeddwa. Tubaagaliza obuweereza obulungi, obujjudde Obumalirivu obutaliimu nkwe. Abavubuka balina okwegomba enkola zammwe. Nga bagoberera amateeka awamu n’ennono. Tusaba Abantu baffe okwetegereza enkola z’Abaami okubatwala nga ekyokulabirako okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Wadde waliwo okusomooza mu by’obulimi n’okugwa kw’ebbeeyi y’ebintu, abantu baffe tubakubirize obutakoowa. Gavumenti etwale eby’obulimi ng’essomo ekkulu ennyo lisomesebwe okutuuka mu Siniya abaana bayige eby’obulimi nga bakyali mu masomero. Tukyawulirayo abantu baffe abasengulwa ku ttaka mu bitundu ebitali bimu. Bwe bagenda mu mbuga z’amateeka kitwala ebbanga ddene okuwulirizibwa. Tusaba abali mu mateeka okusalawo emisango egyo mu bwangu.”

Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending