Connect with us

National News

Mutulinde kumilyango aba Museveni Awooma batandiise enjiri ya NRM

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Bannakibiina Kya NRM ab’ekisiinde ki “Museveni awooma” batongoza enteekateeka mwebagenda okutalaagira eggwanga lyonna nga bava nju ku nju wamu ne ebweru wa Uganda nga bannyonyola bannayuganda ebirungi gavumenti Eno by’ekoze wamu nebyo byeteekatek okukola
Bwabadde ayogerako mulukungaana lwa bannamawulire ku speke hotel muKampala Nsereko Emmanuel Munnamasaka nga yaakuliddemu enteekateeka Eno agambye nti program za gavumenti nnyingi gamba nga emyooga ne parish development model abantu bangi tebazijjumbidde olw’obutamanya nga kati kekaseera nga bbo bannabitono okugatta ettofaali kunsi yaabwe nga balaga abantu byebasobola okukola bejje mu ddubi ly’obwavu wamu ne abantu okutunula enkaliriza obutabbibwako ssente za parish development model n’emyoga

ALSO READ  Breaking News Speaker Of Ugandan parliament AAA gives birth to Twins now Nalongo


Munamasaka bwabuzidwa Ani anavujilira enteekateka Eno agamba Banansi bebagenda okubawagila ngabesolozaamu sente ezinabatambuza okuliisa enjiri ya Museveni Awooma kubuli mulyango okakasa nga Mwami Museveni adamu okuwangula akalulu kabona.

Ate ye omuyimbi Fred Ssebbaale nga ye omu kubali mukisinde kino agambye nti balabye ewali obunafu bwona naddala mu program za gavumenti nga bagenda kutambula okusisimula abantu obutalimbibwa limbibwa nti Museveni talina kyakoze , bwatyo nasaba abayimpi okubegattako.”Yeffe bantu abatuufu okutumbula Emilimu Gino kubanga abantu batwagala era batukililizaamu nolwekyo tetutuula ssebale bwategezeza”

Ate ye munna NRM Nankya Dorothy
agambye nti bagenda kutambula ne abayimbi wanmu ne abakozi bagavumenti abalala abakola emirimu ej’ekikugu nga basomesa abantu ku program za gavumenti nebasaba abantu obutababoola ngabatuuse mubitundu byabye kubanga kyebakola kizimba bulamu bwabuli muntu.

Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending