Connect with us

Education

Musomese Abaana ebinabayamba okwetandikilawo Emilimu Minisita Muyingo Asabye Abamyuuka ba Senkulu Bazi Yunivasite

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Minister we byenjigiriza ebyamatendekero agawagulu JC Muyingo asabye amatendekero ga wagulu okusomesa courses ezisobozesa abayizi okwetandikirawo emirimu baleme kwonona biseera byabayizi na sente za bazadde Bino minister abyogerede mu lukungaana lwa Uganda Vice chancellor’s Forum ku University ya KIU e kansanga  mwebajaguliza emyaaka 25 bukyanga kibiina kyabwe kitandikibwawo  

/////////////////////////////Ekibiina ekitaba abamyuuka ba ba chancellor bamatendekero agawagulu ki Uganda Vice Chancellor’s Forum (UVCF) enkya ya leero kitegese olukungaana ku Kampala International University mwebajaguliza emyaaka 25 bukyanga kitandikibwawo Kino kyatandikibwawo nekigendererwa ekyokulaba nga abamyuuka baba chancellor bagata amagezi okulaba nga bakyusa n’okutumbula ebisomesebwa abayizi mu matendekero agawagulu basobole okufuluma nga basobola okwetandikirawo emirimu 

ALSO READ  TUFEEYO NYO KUBAANA ABOBULENZI SSABASUMBA SSEMOGERERE AWABUDDE NGA ST CYPRIAN KYABAKADDE EWEZA 25

Eriabu Lugujjo executive director we kibiina kino ategezeza nti ensangi zino abazadde bangi bayita mubulumi olwokusomesa abaana ate oluvanyuma lwokutikirwa nebatuula ewaka nga tebayina mirimu Ono oyongedeko nti kino tekifiriza bazadde boka wabula ne government efirwa omusolo abaana bano gwebandiwade nga batandise okukola 

Ye Minister JC Muyingo asinzidde wano nasaba abamatendekero agawagulu okusomesa abaana ebintu ebibayamba okwetandikirawo nokuvuganya ku katale ke mirimuMinister era abasabye okusosowaza okunonyereza nokuyiya ate ebiba bizuliddwa bitekebwe munkola era nayanjula ne ensimbi obukadde 50 minister Janet Kataha Museveni zawereza ekibiina

kin

o

 
Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending