Connect with us

Education

Mulago School of Nursing and Midwifery Efulumiza abasawo Abasuka mu 500 Minisita Muyingo Abawagidde kukyotandiika okusomesa Diguli

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

MINISITA w’ebyenjigiriza ebyawaggulu Dr JC tom Muyingo yeeyamye okukola obutaweera okulaba nga Mulago School of Nursing and Midwifery etandiika okufulumya abayizi ku mutendera gwa diguli kisobozese egwanga lyafe okuyitimusa ebyensomesa nokufuna abakugu abandyagadde okwongera kubitabo byab we naddala abo abayitidde mutendekero lino ngakibanguyila okudamu

Okwogera bino , Muyingo abadde ku mukolo gw’amatikkira ga Mulago School of Nursing And
Midwifery Mulago

Guno mulundi gwa 12 nga ettendekero ly’abasawo lifulumya abayizi ababanguddwa ku mutendera gwa satifiketi ne dipulooma era leero abayizi abasoba mu 500 bebatikiddwa

.Minisita muyingo okukola obweyamu abadde ayanukula mulanga gwa akulira ettendekero Pulinsipo w’ettendekero Eva Kakonge Nampiima bwabadde ayogerako nabayizi abatikiddwa era wano abeebazizza okuba abaguminkiriza okutuusa lwebamalirizza emisomo gyabwe .

Asiimye gavumenti okuvujjirira ettendekero ebbanga lyonna okulaba nga abayizi bafuna obuyigirize obuli kumutindo .Ayongedde nategeeza nti ku mulundi guno , abayizi 97% baayise era tegeezezza nti ettendekero lino lisoomoozebwa omuwendo gw’abakozi bebalina wamu nebizimbe ebitono nga bibalemesa okubangula obulungi abayizi Agamba mu mbeera yemu ebalemesa okutuukana ku ddaala erisomesa diguli ekintu kye bandibadde basobola okutuukako bwatyo nasaba minisita okubayambako okulaba nga okusoomoozebwa okwo kugonjoola

Ye kamisona w’amatendekero g’abasawo Dr.Safina Museene ategeezezza minisita nti omwaka guno batongoza ebisomesebwa ebiggya ebyabasawo mu masomo gabwe nga bakwongera okubaga ebisomesebwa ebiggya mu masomo amalala nga palliative

Bwabadde ayogera , Minista J. C Muyingo asabye abatikiddwa okufaayo ennyo ku nkola za tekinologiya ezijja zetubula mu busawo nobujjanjabi okusobola okuba abasawo abalungi abaweereza eggwanga .

Abasabye obutakoma ku buyigirize bwe bafunye leero wabula baddeyo bongere ku misomo gyabwe nga ba specialisinga mu fields nga palliative Nursing Asinzidde wano nawa obweyamu okukolaganira wamu nabakulira ettendero lino okulaba nga bafuna ebizimbe ebiggya ebisomesebwamu abayizi wamu n’okulaba nga Mulago etandiika okufulumya abayizi ku ddaala lya diguli.

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending