Connect with us

News

Mukuume Omutindo gwabassawo bemusomesa Dr JC Muyingo akuttide Abamatendekero UPHTIA

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Minisita Omubeezi owamatendekero agawagulu Dr. JC Muyingo, alabudde abatandisi bamatendekero ag’ebyobulamu ag’obwananyini, okwewala okutandika amasomero ga tebatukiriza bisanizo ebibalagibwa Gavumenti.

Bino Muyingo abyogerede ku mukolo gw’ekibiina ekitaba abamatendekero ag’ebyobulamu ag’obwananyini ki Uganda Private Health training Institutions Association (UPHTIA) kwebakyusiliza obukulembeze nga omukolo gubadde ku Kampala Serena Hotel.

Ssentebe w’ekibiina kino omugya Abala Mundu Joseph adidde Prof. Wilton Kezala mu bigere nga

Ku mukolo guno Minisita Dr. JC Muyingo akalatidde abatandisi bamatendekero okufaayo okukuuma omutindo gamassomero gabasawo bano okusobola okusomesa abayizi ebyobulamu ebitukanye n’omutindo.

Advertisement

Muyingo ayongedde okuwa banayuganda esuubi nga Gavumenti bw’egenda okwongera okuzimba amattendekero agabangula kko nokusomesa abasaawo nga bwanyonyola.

ALSO READ  KELEZIYA KATOLIKA YAMANYI NYO MINISITA JANET KATAHA MUSEVENI AGITENDEREZA KUKUTUMBULA EBYENJIGIRIZA

Hajjati Safina Museene Commissioner wa Health Education training ku mukolo guno asibiridde abakulembeze abagya entanda yokolaganira awamu okusobola okutambuza obulungi omulimu gwokusomesa abasaawo mu matendekero nga bwanyonyola.

Abala Mundu Joseph Ssentebe omugya asabye Gavumenti okubakendeleza ku misolo ne bisale ebijibwa ku matendekero gano nga bwanyonyola.

Oluvanyuma Minisita Muyingo akwasiza Ssentebe omugya stamp nebiwandiiko bya office olwo nakwaasa ne Ssentebe avudeko Prof. Wilton awaadi yokumuyozayoza olwokutambuza emiriimu obulungi.

Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending