Connect with us

News

Mu 2035 Buli Muna Uganda Agenda kuba Namasanyalaze Gavumenti ewezze

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Ministry yebyamasanyalazze nobugaga obwomuttaka etegezeeza nga bwetunulidde okwongera kubunji bwamasanyalazze okutukira ddala ku mega watts emitwalo 5 mu 2000 ngemu kawefube wokutumbulamu ebyenkulakulana.
Ministry eno era elina entekateeka eyokulaba nga ebitundu byeggwanga byonna bibunyisibwamu amasanyalazze wegunatukila omwaka gwa 2035.
Bino byogeddwa minister omubeezi owebyamasanyalaze Syndroneous Okasai Opolot bwabadde atongoza omwoleso gwebyamasanyalazze ogutumiddwa power and elec Uganda 2023 ogwenakku 3 oguyindila mukibangirizi kyabanamakolero e Lugogo nasaba abasubuzi ba nekolera jjange okuvaayo okukwatilako gavumenti okutuusa ekilooto kino.
Omwoleso guno gwegusokedde ddala wano muggwanga nga gutegekeddwa Uganda ngekolaganila wamu ne gavumenti ya Buyindi okwongera okutumbula amagezi munsonga zebyamasanyalaze namannyi genjuba.

ALSO READ  Picking Speedy Solutions For Nrich Maths Org


Minister mungeri yemu asabye banekolera jjange okuyambako mukulwanyisa obubbi bwamasanyalazze era nasaba banayuganda okulowooza ennyo kukyokutandika okukozesa amasanyalazze mubintu ebyokwekulakulanya.


Kyo ekitongole kya gavumenti ekilondola ebyamasanyalazze ki Uganda regulatory Authority nga kikulembeddwa Julius Wandera bategezeeza nga buli eggwanga bwelyeyongera okubunyisa amasanyalazze nobuyiiya buba bweyongera okukulakulanya eggwanga.
Wandera era alambuludde engeri gavumenti jjekozemu okulaba ngeterawo banamakolero embeera enungi jjebayinza okukoramu ngabakozesa amasanyalazze.

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending