Connect with us

Education

Minisita Kataha Museveni Atendereza Omuwendo gwabawala Abayise Ebya UBTEB Ngabifulumizibwa

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Minister w’ebyenjigiliza n’emizanyo Jannet Kataha Museveni atendereza omuwendo g’wabaana ab’obuwala abeyongedde okwetanira amasomo g’ebyemikono okwetoolola eggwanga lyonna.Okwogera bino abadde Nakawa ,mu kufulumya ebigezo Bya Uganda Business and Technical examinations Board ebyatuulibwa mu July ne August wa 2023

Omukolo gw’okufulumya ebyava mu bigezo bya bakola ebyemikono neby’obusuubuzi ebitegekebwa ekitongole kya UBTEB gwetabiddwako abakulembeze ku mitendera egyenjawulo omubadde omuwandiisi w’enkalakkalira mu ministry y’ebyenjigiliza n’emizanyo Cate Lamaro , Ssaabawandiisi wa UBTEB Onesmus Oyesigye , minister w’ebyenjigiliza ebisokerwako Joyce Moriku Kaducu kwosa Minister J C Muyiingo nga yakiikilidde Minister w’ebyenjigiliza mu ggwanga Janet Kataha Museveni.

Onesmus Oyesigye nga ye Ssaabawandiisi wa UBTEB asinzidde ku mukolo guno nategeeza ng abwe batuuza abayizi abasoba mu 3,051 okwetoloola eggwanga lyona nga bano batuulira mu bifo 36

ALSO READ  Emilimu Gyemikono bwebuggaga obwensibo Male Wilson Atumbudde Mukono South

.Ategezeza nga abayizi ku bayizi 3,051 abewandiisa okutuula ebigezo bino abayizi 2,615 be basobola okuwandiika ebigezo bino nga bano okulemelerwa okutuula ebigezo bino kyekuusa ku butamalaayo bisale bya ssomero kwosa n’okubanga balina emilimu emilala gye bakolaAbuulidde abakulu nga abayizi ab’obuwala bwe beyongedde okujjumbira amasomo g’ebyemikono ara nategeeza ng abwe baliko abayizi 50 abakwatibwa nga bacopa ebigezo nga bano olusoma lwabwe lugenda kusazibwamu.

Cate Lamaro nga ye muwandiisi ow’enkalakkalira mu ministry y’ebyenjigiliza n’emizanyo asuubiza nga gavument bwejja okwongar okubakwasizaako naddala mu kutumbula amasomo g’ebyemikono mu ggwangaMinister w’ebyenjigiliza ebisookerwako Moriku Kaducu ayagaliza abayizi b’ekibiina eky’omusanvu okutuula ebigezo obuluungi era nasaba abakulira amasomero okuyamba abayizi bano okutuula obuluungi ebigezo byabwe.

ALSO READ  Premium anabolic steroids are now available for sale. These high-quality performance-enhancing substances have been carefully formulated to provide optimal results for athletes and bodybuilders

Minister Jannet Museveni mu bubabaka bwe obumusomeddwa JC Muyiingo asoose kusaasira abayizi abafiiridde mu njega y’omuliro omwafiiridde abaana 7 mu bitundu bye MasakaYebaziza ekitongole kya UBTEB olwe Ttoffaali lye batadde ku byenjiliza bye nfuna bye ggwanga nga bayita mu kubangula banna Uganda okwetandikirawo emilimu.Anyonyodde enteekateeka z’okukola amateeka

aganalungamya eby’emikono mu ggwanga era nasaba banna Uganda okuwaayo endowooza zaabwe ku biki bye baagala base mu tteeka linoOluvanyuma atongozza ebyavudde mu bigezo Bino

Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending