Connect with us

Business

Luweero Bitabuse! Bakanyama Ba Bp Ssebagala Bakanze Abakulisitaayo nebadduka Mukanisa Kusande

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Embeera Mubulabilizi bwe Luweero buli Lukya eyongera Kusajjuka ngawosomera Bino Amakanisa gonna gakalidde olwobunkenke nokutya abantu byebayitamu Wakati ngabagenze okusinza omutonzi,bino byonna byajjawo oluvanyuma lwabakulu Mukanisa ya Uganda COU okusazaamu omulabilizi eyalondebwa Bishop Godfrey Kasana Ssemakula kubyaali bigamba nti Ono yetaba mubwenzi nazaala abaana ebbali wobufumbo obutukuvu mbu ngalina nomukyala omulala wabula bino bukya babyogera obujulizi obukakasa byebogeera bwabuula Mungeri gyoyinza ogamba nti ebigambo byabakalira kumumwa.

Wazze wabaawo obwediimo obwenjawulo okuva mubakulisitaayo ngabalaga obutali bumativu Kunsonga yokusaazamu Kasana wabula wadde byalabika nga ebyangu kati obunkenke bweyongedde nyo naddala mumakanisa, omulabilizi eyatwalibwa okuba ngakuuma Obulabilizi buno ekyamazima Kili nti abantu bamuboola ngawasinga wagenda Bamugobya Mayinja Nankonyogo !Naye nga Lwaaki ekanisa ya katonda okutuuka kwekyo?!

ALSO READ  TUFEEYO NYO KUBAANA ABOBULENZI SSABASUMBA SSEMOGERERE AWABUDDE NGA ST CYPRIAN KYABAKADDE EWEZA 25

Olwokutya Bishop Ssebagala Eyawumula Akuuma Obulabilizi kwalimu kati yasazeewo afuneyo Bakanyama abamukuuma buli walaga okusabisa naye okusinziila kubantu ba Katonda baganye okukiliziganya nakyo nti Bakanyama bano babakanga nekibamalako edembe lyabwe elyokusinza ,abalala Bagamba Tebamanyi kyakunyonyola Baana babwe Ababuuza ebibuuzo ebizibu lwaki omuweleza wamukama Atambula nebakanyama ngaate katonda Akuuma songa abalala Bagamba Ono muntu yomu yeyawandiika ebaluwa Eri Obulabilizi nti Eluweero kili bulungi teli yadde buzibu kati ate lwaki Atambula nebakanyama omutuuze omunyivu yabuziza .

Abamu kubakadde bekanisa abatagadde kwogera manya gabwe Bagamba Ssabalabilizi Dr Kazimba Mugalu yandyekubye mukifuba ngomukulembeze aleme kufananako nga Falawo kukakanyaza mutima gwe kubanga Bagamba ye ngomuntu amazima agamanyi nekilina okolebwa akimanyi okuteleza embeera Eno naye bo kibaluma okulaba okweyagaliza okususe mubantu abamwetolodde

ALSO READ  President Museveni meets,interact with MTN chiefs at Munyonyo Trade Summit

“Twalina essubi ddene mu Dr Kazimba naye okusinziila watadde ekanisa yaffe kubukulembeze bwe tusinda munda muffe olwobulumi omukadda owemyaka 96 Bwategezza ngakaaba”Mukaseera kano Ensonga Zili mukooti era omusango gwatandiika okuwulirwa nga 11/10/2023 mu kooti Enkulu mukampala.

Wabula abantu okusaba bakuvaako,okuwaayo bakuvaako ,Amakanisa agasinga ganatera nokugalawo ngabasinga Bagamba kimu Twagaala Kasana.

Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending