Connect with us

News

KITALO! Omuyimbi attiddwa mu bukambwe, omulambo gusangiddwa ku kkubo

Ssekanjako Deus

Published

on

Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ku nfa y’omuyimbi Donozio Ainebyoona abadde amanyikiddwa nga Donz Entuuha.

Donz Entuuha y’omu ku bayimbi abanene mu bitundu bye Mbarara kyokka omulambo gwe gwazuuliddwa ebbali w’ekkubo ku kyalo Kacence cell, Kakyika ward mu kibuga Mbarara ku Mmande kumakya.

Okusinzira ku mikwano gy’omugenzi, Donz Entuuha yabula akawungeezi k’Olwomukaaga nga yava awaka ku ssaawa ku ssaawa nga 8 ez’emisana okugenda mu situdiyo.

Advertisement

Yava mu situdiyo ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi nga bazzeemu okumulaba ng’attiddwa nga n’omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mbarara.

Omugenzi Donz Entuuha

Fred Amutuhaire amanyikiddwa nga Rwankunyonyo ng’abadde mukwano gw’omugenzi awanjagidde ekitongole ekya Poliisi okuyamba okunoonyereza okutuusa nga bazudde ekituufu ku nfa ya mukwano gwabwe.

ALSO READ  PM Robinah Nabbanja Reviews progress at Karuma Hydro power project.

Ate Beazine ZJ nga munnamawulire kyokka yakola n’omugenzi oluyimba ‘Omugogo’ agamba nti Donz Entuuha abadde muntu waddembe nnyo nga betaaga okutegeera ekyamusse.

Omugenzi Donz Entuuha abadde muyimbi, muwandiisi era mu 2019 lwe yasiinga okumanyika oluvanyuma lw’okufulumya oluyimba ‘Omugogo’

Advertisement

Omuyimbi Donz Entuuha w’afiiridde ng’alina oluyimba ‘Malaika’ wabula mikwano gye, gikyasobeddwa.

Advertisement
Advertisement
Advertisement

Trending