Connect with us

News

KELEZIYA KATOLIKA YAMANYI NYO MINISITA JANET KATAHA MUSEVENI AGITENDEREZA KUKUTUMBULA EBYENJIGIRIZA

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

~_“`MINISTER MU GOVT EYAWAKATI AVUNANYIZIBWA KU BY’ENJIGIRIZA N’EBYEMIZANYO ERA MUKYALA W’OMUKULEMBEZE W’EGGWANGA JANET KATAHA MUSEVENI ATENDEREZZA ENKOLAGANA ERIWO WAKATI WA KELEZIA KATOLIKA NE GAVUMENTI EYAWAKATI NADDALA MU BY’ENJIGIRIZA, GY’AYOGEDDEKO NGA EYAMBYE OKUTUMBULA EBY’ENJIGIRIZA MU GGWANGA KU MITENDERA EGYENJAWULO NGA KELEZIA EZIMBYE AMASOMERO MANJI, KKO WAMU N’OKUWA GAVUMENTI E TTAKA MU BITUNDU BY’EGGWANGA EBYENJAWULO OKUTEEKAKO AMASOMERO.

BINO MINISTER JANET KATAHA MUSEVENI ABITADDE MU BUBAKABWE OBUMWETIKKIDDWA MINISTER MU GAVUMENTI ATWALA EBYENJIGIRIZA EBY’AMATENDEKERO AGA WAGGULU OWEK HON DR JOHN CHRYSOSTOM MUYINGO KU BIKUJJUKO EBY’EMYAKA 70, EBY’ESSOMERO LYA ST. CHARLES LWANGA COLLEGE KOBOKO WALI MU DISTRICT EYE KOBOKO.

ALSO READ  Breaking News!Ugandan Government extends Terms for LC1 and LC2

Minister Muyingo nkolagana

MUNGERI Y’EMU OWEK.DR. JC MUYINGO AJJUKIZZA ABASOMESA ABATANNAWEZA BISAANYIZO BIBAKKIRIZA KUSOMESA MU NTEEKATEEKA EMPYA EKY’EBYENJIGIRIZA OKUFUBA BADDEYO BASOME OKWEWALA GAVUMENTI OKUBAWANDUUKULULA KU LUKALALA LWAYO.

Advertisement

Minister Muyingo basomesa.

YE OMUBAKA MU PARLIAMENT OWA MUNICIPAALI EYE KOBOKO DR. CHARLES AYUME ALABUDDE ABADDUKANYA AMASOMERO MU KITUNDU EKYA WEST NILE OKUFUBA BALWANYISE EMBEERA EY’ABAYIZI OKWEGUGUNGA OKUBADDE KUFUUSE OKWA BULI KISEERA KYOKKA NGA KUVA KU NSONGA ENNAFU, KWAYOGEDDEKO NGA OKUSSIZZA WANSI ENNYO OMUTINDO GW’EBYENJIGIRIZA MU KITUNDU EKYO EKYA WEST NILE.

Byte MP AYUME ON STRIKES.

YE AKULIRA ESSOMERO LINO FRANCIS OKENYI ATENDEREZZA ABO BONNA ABASOBODDE OKUYIMIRIRA N’ESSOMERO LINO MU BBANGA ERY’EMYAKA E 70 EGIYISE, NE MU KISEERA WERYATAAGULWA OLUTALO WAKATI WA 1979 NE 1986 NGA LYALI LIFUULIDDWA NA NKAMBI Y’A

Advertisement

HM OKENYI 70 YEARS.

ALSO READ  19 Rescued in operation Shujaa offensive as Lt Gen Muhanga Tours Bases in Ituli

MINISTER JANET KATAHA MUSEVENI AWADDEYO ENSIMBI OBUKADDE 20 MU MPEKE NGA EKIRABO KU BIKUJJUKO BINO, KYOKKA NE MINISTER MUYINGO N’AWAAYO SIKAALA/ BURSARY TTAANO(5) ERI ABAANA ABATALINA MWASIRIZI MU KITUNDU EKYO.

Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending