Connect with us

News

Ettima Kubamawulire!Laba enjala nekamunguluze kumukolo gwa Gavumenti Emunyonyo bibadde bibamalawo Bitiisa.

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Ettima Kubamawulire!Laba enjala nekamunguluze kumukolo gwa Gavumenti Emunyonyo Bitiisa.

Buli lunaku olukya omulimu gwokusaka amawulire mu Uganda kifuuse ekimu kubintu ebizibu enyo ogutegombesa kukola era Abasinga batunulidde kugenda kumawanga bafuna webanywa Amazzi.

Wobalaba ku Tv oba okubawulira ku Radio osobola okubesimisa Ekisikiliza abangi okugugendamu naye obulumi ebiseera ebisinga obumanya otuseemu .

Advertisement

Bano Bagamba ensonga yokuyisibwamu amaaso naddala Ebitongole nabakozi ba Gavumenti kyekisinze okubamalako emirembe,ngatebakyasibwamu kitiibwa nakatono songa emilimu egikolebwa etundu eddene giyamba Gavumenti okumanyisa,okusomessa Saako nokusanyusa Banansi naye ekiluma bebantu abatwalibwa ngasibamuggaso songa abakungu bagaala okwewulira kuzi radio nokwelaba kuzi Tv .

Olwaleero bano kata omwana womugisu wanjala abattire ku mukolo ku wooteeri eyamanyi mubitundu bye Munyonyo kumukolo gwa G-25 African Coffee Summit ngakuno omukulembeze wegwanga Yoweri kaguta Museveni yabadde omugenyi omukulu.kumulamwa gwokulaba butya emwanyi yakuno eyitimuka ngeyongedwako Omutindo “Transforming the African Coffee sector through value Addition”

ALSO READ  Tension at provincial Headquarters over fraudulent nomination process of Namirembe Bishop


Bitandiise bwebiti

Abamuwulire Batuuse mukifo kussawa 1 eyokumakya kitegeeza omuntu aba yasimbudde kussawa 11ezokumakya kubanga abasinga batambulira muntambula yalukale ,olwokuba Pulezidenti yabadde omugenyi omukulu balina okukebera ebyuma byabwe abebyokwelinda nokubikakasa

Omukolo wegutandiise kumakya kyebasobodde okubawa yeccupa yamazzi kussawa 4 ezokumakya ngabalajanye nyo olwo,obwedda abakungu balya banywa olwo Bambi basajja battu nebakazzi battu bamila mangota Songa omulimu bagukola bayimilidde ebiseera ebisinga.

Kino tekisoose leero Kyenkana gufuuse muzze owamawulire obutafibwako okuviira Ddala kunkungaana zebitongole bya Gavumenti,emikolo ggyegwanga emikulu egibaawo teli abafaako, emikolo gyabamadiini emikulu teli ayagala kumanya bwebaze nabwebaddayo Songa ate babasubiramu empeleza.

Advertisement

“Tukooye obutayisibwa ngabantu naffe tuli Bana Uganda abagenda Mumasomero netusoma ngabantu abalala ekimala kimala “Munamawulire omu Bwategezza.

ALSO READ  Les stéroïdes peuvent causer de l'acné sur le dos.Les stéroïdes, qui sont des médicaments utilis

Ekisinga okwenyamiza buli mukolo gwa Gavumenti bategekawo akasente akentambula yomusasi naye abategesi kati Kyenkana mubitongole byonna basalawo kweza musimbi Gunno olwo nebakomya bawandiisa kumpapula ngabategeeza nga bwebaba bagenda ozzisa kussimu okanya kulinda ngateli kavaayo mubufunze okufera banamawulire kati kissuse nyo

Tegera bino nti emikutu gya mawulire mitono nyo wano egisobola okweyimilizawo nokuyimilizaawo abakozi bagyo olwembeera yebyenfuna buli muntu gyalaba naye gyebuvuddeko omukulembeze wegwanga yayisa ekilagilo ebilango bya Gavumenti byonna biweebwe mikutu gya gavumenti okuli UBC ne New Vision ekintu ekyongedde okutabula bananyini mikutu Gino sinakindi kwagala bagoba mulwokaano wabula bano basuubirwa okusisinkana omukulembeze wegwanga sabiiti Eno.

ALSO READ  Breaking News The Son of Ali Bongo has been Arrested by the Army

Ekitongole Kya Uganda Coffee Development Authority (UCDA )kyekyategese omukolo Gunno banamawulire kwebabadde batondoka olwenjala Songa abasinga balabidwako ngabatambuza bigere okudda ewakka kubanga nentambula ebaza ewakka tewabadde.

Advertisement

Tujja kuwa olukalala lwebitongole bya Gavumenti ebisinga okubba Sente Zabamawulire tukyamaliliza okunonyereza

Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending