Connect with us

Education

Emilimu Gyemikono bwebuggaga obwensibo Male Wilson Atumbudde Mukono South

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Emilimu Gyemikono bwebuggaga obwensibo Male Wilson Atumbudde Mukono South.

Mukawefube wokulaba ngobulamu bwomuntu wabulijo bukyuuka omukulembeze wekibiina Kya National Unity Platform mu Mukono South Ngera yavuganyako kukifo kyomubaka wa Palamenti mukalulu akakagwa akinoganyiza nti wetuba tunasitula ebyenfuna mubulamu bwabantu tuteekwa okulaba ngatusa essira kumilimu Gyemikono ngabuno buggaga bwenyini bwosobola okuwa omuntu natandiikawo emilimu awatali kutambula wano newali ngononya milimu kubanga agamba Kiviriddeko bangi okugenda kubyeyo abamu nebasoberwa obulamu kubanga byebasoma batono abafuna emilimu.

Omwami Male Ayongeddeko nti ebyemikono birungi kubanga bigatta abasooma nabo abatasoma songa bona nebaba mubulamu obweyagaza ate omuntu wonna wagenda asobola okubaako kyakola okugeza okusiba enviiri,okutunga engoye ,okukanika,okufumba nebirala byetagibwa buli kitundu Kyenkana Munsi yonna.

ALSO READ  Tension at provincial Headquarters over fraudulent nomination process of Namirembe Bishop

Ono yegatidwako omukiise wa Canada mu Uganda omukyala Pamela Wright ngabagabye ebyalaani 106,ebyuma ebikaza enviiri 50 Saako Tool box 40 ngababiwa Bamulekwa abatalina busobozi bulungi ngabayita mukibiina Kya Kyetuume Community Based Health Care Program ngamagombolola gonna gaganyudwa omuli Mpatta,Mpunge nekitundu kyonna ekya Mukono South Baganyudwa.

Bonna Abaana bebaziza ababakwatiddeko ngabagamba kino kibawadde esuubi nokukoma okwekubagiza ngakati balaba ebiseera byabwe bitangaavu Ddala

Advertisement

Bano bakwasidwa namabaluwa agakakasa obukugu buno ngabasobolera Ddala okuvuganya mukatale kemilimu.

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending