Connect with us

News

Bbale Kayunga Twabakola ki,Abatuuze Bazibye oluguddo oluvanyuma lwabantu 7 okuffa Police esattidde

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Abatuuze baggadde oluguudo oluva e Kayunga okudda e Bbaale ne basanyalaza emtambula okumala esaawa nnya.

Bawakanya embeera embi oluguudo gye lulimu gyebagamba nti evuddeko obubenje obufiiriddemu abantu bangi nga batomerwa loole ezisomba ebikajjo.

Bino babikoledde mu butawuni bubiri okuli Kitimbwa ne Kitwe era poliisi ebadde ku mulimu gwakuyoola mayinja n’emisanvu emirala abatuuze gye bakozesezza okuggala oluguudo.

Advertisement

Abasirikale Nga Bazikiza Omuliro Abatuuze Gwe Baakumye Mu Luguudo.

Abasirikale Nga Bazikiza Omuliro Abatuuze Gwe Baakumye Mu Luguudo.

Oluguudo luno luweza kkiromita 89 nga luva e Kayunga okutuuka e Galiraaya ku nnyanja Kyoga nga luyitira e Bbaale.

Nga oggyeeko obubenje abatuuze beekokkodde enfuufu eyitiridde ku luguudo luno ne bagamba nti Pulezidenti Museveni mu mwaka gwa 2021 yasuubiza nga bwe lugenda okukolebwa wabula na guno gwaka tekituukirizibwanga.

ALSO READ  Businessman Aponye dies in car crash in Ntungamo

Abamu babadde n’ebipande ebiriko obubaka obwokwemulugunya.

Advertisement

Abasirikale Nga Nga Abataayizza Omukazi Shakira Omu Ku Bagambibwa Okulemberamu Okwekalakaasa.

Abasirikale Nga Nga Abataayizza Omukazi Shakira Omu Ku Bagambibwa Okulemberamu Okwekalakaasa.

Omubaka w’essaza ly’e Bbaale Charles Tebandeke azze ayimbirira gavumenti okukola oluguudo luno era nga enfunda eziwerako awandiise amabaluwa n’olumu nga ensonga z’oluguudo ezanja mu Palamenti.

Poliisi obwedda abatuuze bagizanya jangu onkwekule nga abasirikale we bayoola emisanvu n’okuzikiza omuliro ate abatuuze we bagizza.

Omwogezi wa poliisi mu bbendobendo lya Ssezibwa SP Hellen Butoto ayogedde ku bibaddewo n’agamba nti tebalina muntu gwe bakutte mu kwekalakaasa kuno wabula okunoOnyereza kukyagenda mu maaso n’alabula abo abakuma mu bantu omuliro okwetaba mu kwekalakaasa okumenya amateeka nti gwe banaakwako waakuvunaanibwa.

Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending