Connect with us

News

Bana Uganda Bongedde okuwa omusolo URA ewadde embalilira

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Ekitongole ekivunanyizibwa kumusolo muggwanga ki Uganda Revenue Authority kitegezeeza nga bwe abantu obukadde 3 nekitundu abawa omusolo bwebawa ekitongole kino essanyu oluvanyuma lwokuwaayo omusolo ogusuuka mwogwo ogwali gutunuliddwa mumwaka gwebyemsiimbi 2022/2023.


Omwaka gwebyensiimbi oguwedde ekitongole kino kyali kitegesse okukungaanya obutabaliika 25 wabula omusolo olwempenda ekitongole kino zezatema, obutabalika obukunukiriza 26 bwebwakunanyizibwa okuwagila embalilira yeggwanga mumwaka gwebyensiimbi oguwedde.


Akulira ekitongole kino Commissioner John Musinguzi Rujoki ategezeeza banamawulire kukitebe kya URA e Nakawa ngebiimu kwebyo ebyabawanguza omwaka gwebyensiimbi oguwedde, kwekulinya kwomusolo ogukungaanyizibwa wano nga guno gwalinya nebitundu 101, okukula kwembeera yebyenfuna muggwanga, okuziiba emiwattwa omwali mubulira enguuzi nebilala.

ALSO READ  Joy as Speaker Among Supports P7 candidates ahead of PLE.



Omwaka gwebyensiimbi 2023/2024, URA etunulidde okukungaanya obutabaliika 29 kumbalilira yomwaka guno eyeggwanga wabula ategezewza nga bwebatasobola nga banayiganda tebasasudde musolo bwatyo kwekusaba banansi obutalekaayo kunsonga yokusasula omusolo


Wano ategezeeza nga abo abakyabanjibwa omusolo batereddwawo enkola eyokubasonyiwa amagoba eri abo abanasasula ebbanja lyomusolo ngennaku zomwezi 30/12/2023 tezinayitako.

URA esabye Bana Uganda bonna okufuba okusasula omusolo kubanga obuyambi oba ensimbi ezewolebwa zayimilizidwa bank yensi yonna”World Bank” nolwekyo kekaseera egwanga okweyimilizawo ngemu Kungeri gyekisoboka bebanansi okwewaayo okusasula omusolo

Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending