Connect with us

News

Abe Luweero Bakombye Kwelima Kunsonga za Bishop Laba akasattilo Kukanissa Enkya

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Abe Luweero Bakombye Kwelima Kunsonga za Bishop Kasana akasattilo Kukanissa Enkya.

Ensonga zekannisa ya Uganda (COU) okusazaamu Omulabilizi omulonde owa Diocese ye Luweero Rev Can Godfrey Kasana Zongedde okufuuka namulanda ngamabeere Gembwa era Twandigamba nti bano bekuliila akabazi kukugulu kubanga Abakiliza Kyenkana bassa kimu ngankuyege bagamba kakibe ki Bagaala Omulabilizi Ono yaba awebwa obuvunanyizibwa ngawekyali mukusooka .

Okusinziila Kunsonda ezesigika zilaga nga Ssentebe wa Disitulikiti ye Luweero Omwami Erasto Kibirango akunze Abakulisitaayo Bonna okweyiwa Kukanissa ya St .Mark Cathedral kumakya Ssawa 2 ngawano bakutegeeza Omulabilizi aliko kati Bishop Nsubuga Elidad obutawaayo Muggo ogwobulabirizi okutuusa Ngensonga Zabwe zigonjodwa .

Advertisement

Mukwekalakasa nokusaba okwemirembe kulunnaku olwokutaano Abamu kubantu bawulidwako ngabewera ngabwebatagenda kukiliza Mukulembeze Yenna abawebwa kubanga bo Bagamba Byonna ebyogerwa ku Can Kasana Byakusiiga Nzilo nejjebuli Kati abaloopa balemedwa okuleeta obujulizu obukakasa Okwemulugunya kwabwe ekintu kyebagamba nti tebagenda kukiliza.

ALSO READ  Tragedy! one person sustains serious injury in Mbarara Accident

Mukuwayaamu nomu kubantu Abenkizo Mu Luweero agambye “Ekituffu abantu sibasanyuffu, kubanga olukiko olusunsula amanya okugawereza balondemu omulabilizi ,luyitibwa diocese council lwakola ogwalwo ate era lwelukiiko olusunsula omuntu okufulibwa canon ,lwakikola era Rev kasana abadde canon ebanga lya myaka esatu,ate amanya bwegawerezebwa mu house of Bishops kyatwala enaku kumi nalumu (11) days era nebayisa erinya lya kasana okubera omulabilizi,kigambibwa Waliwo akabinja akalwana olwebigendererwa ebyabwe, era Rev kasana abadde sentebbe wa ba Reverends mu luweero diocese okumala emyaka mukaga erayakyali ate ogamba otya nti sumutuffu?”Bwategezza .

Wabula era tukikakasiza nti Abakulu okuva munyumba yabalabilizi bakussituka olunaku olwenkya Bagumbe kukitebbe E’Luweero mukuwuliliza Ensonga yabuli Muntu.

Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending