Celebrity News
Abazukulu Bakoledde Pulezidenti Museveni Akabaga Kamazaalibwa nebajula Kololo,Abazilwanako Bagudde Mubintu

Namungi womuntu yeyiye e Kololo okujaguza amazalibwa ga Pulezidenti weggwanga Yoweri K.Museveni age 79 nga bajukirirako abazirwanako abalwana olutalo nga basinziira ku mugga Katonga mu kibiina kya NRA nga kikulembelwa president Museveni nebawamba mu 1985.Omukolo guno gwategekeddwa Office of the National Chairman etuula e Kyambogo ngekulemberwa Hajjati Hadijah Namyalo nga lutumiddwa “KATONGA SPIRITS”.
Omukolo gwetabidwako abagenyi abenjawulo okubadde abavubuka mu bibiina ebyenjawulo,banaddini, abakulembeze bennono, nabakulembeze okuva mu mawanga amalala, ba Minisita, nga neyaliko omumyuka wa President Edward Sekabdi, ne vice President omugya Maj. Jessica Alupo betabye ku mukolo guno.
Museveni mukutuuka e Kololo awelekeddwako Mukyalawe Maama Janet k. Museveni wakati munduulu ebadde eva mu bantu nga bamwaniriza.Wano ayaniriziddwa Vice president Jessica Alupo ne Hajjati Hadijah Namyalo nabalala nga wano president alambudde emidala egyenjawulo.Basoose kumuyimbira luyimba lwamazalibwa oluvanyuma abaInter religious Council bakulembeddemu esaala yokumusabira.

Maj.General Kashaha steven ayogedde kulwaba veterans annyonyodde olutabalo lwakatonga nga annyonyodde obukulu bwolutalo luno olwatuusa ekibiina kya NRA nga kikulembelwa president Museveni okuwamba ekibuga Kampala.Akulira woofiisi ya ssentebe wa NRM Hajjat Hadijah Namyalo alopedde Museveni nga sente zeyawayo okuyambako abazirwanako e Katonga nga sente zino waliwo abazilya.
Namyalo era ategezeza President Museveni nga abazirwanako abalwanirira eddembe bwe basanye okujukirwa kko nokufibwako.Wano atonedde president Museveni ekirabo kyebinikka nengabo kko nefumu obubonero bwomulwanyi namige.
Wano azanyikirizi Tr. Mpamire asanyusiza abantu bwagegenyeza President Museveni.Vice president Maj. Jessica Alupo ategezeza nga olutabalo lwa Katonga welwogerwako mu byafaayo bya Uganda nga bangi ku bami nabakyala bewayo olwamwoyo gwa ggwanga nebalwanirira eggwanga ly’abwe nga gyemirembe banayuganda gyebeyagaliramu.Omukulembeze w’eggwanga YK Museveni mukwogerakwe asabye banayuganda okumukwasizako okulaba nga abakulu b’amassomero abagyako abayizi ensimbi mu massomero ga Gavumenti aga bonna basome nebama abayizi omukisa gwokusoma bakolwako ng’amateeka.Museveni awadde abazirwanako esuubi okumusisinkana okumulopera ebizibu byabwe nga wano asubiza nga Hajjat Hadijah Namyalo wajja okubatwalayo banje ensonga zaabwe alabe webasobola okugonjoola ebyo ebibasomooza nga wano yebaziza Namyalo olwokutegeka amazalibwage agemyaka 79 nga bajukira abalwanyi ba Katonga.

Museveni era asimbye essira kunsonga ezenjawulo eziyinza okulakulanya banayuganda okuli banayuganda okozesa obulungi ettaka nga benyigira mu byobulimi, amakolero, obuwereza obwenjawulo nokozesa ebyuma bya kalimagezi.Oluvanyuma Museveni asaze keeki yokujagiza emyaka gye 76.Abayimbi abenjawulo basabyusiza abagenyi.
-
National News2 months ago
Abawayiliza Rev Canon Godfrey Kasana Nasazibwamu Basattila Laba bwebasobedwa
-
News4 months ago
Breaking News!Ugandan Government extends Terms for LC1 and LC2
-
National News5 months ago
Businessman Aponye dies in car crash in Ntungamo
-
Celebrity News5 months ago
Jose Chameleone bamuwadde ekitanda mu America, taata abotodde ebyama ku bulwadde
-
Education5 months ago
Lilian Mbabazi Over the Moon as Son she Sired with Late Mowzey Radio Joins Secondary School
-
Entertainment5 months ago
Bebe Cool Pledges to Help Bedridden Da Mighty Family Comedian Sammy
-
Celebrity News5 months ago
Eyazilwanako pulezidenti Lanek Ayimbye Oluyimba lwennimi Neluchamula Bana Uganda Mbu Lwandisinga eza Alien skin
-
News4 months ago
Retired Police Officer Sam Omala Joins Private Security,Mukula Speaks Out