Connect with us

National News

Abazadde Mukuze Abaana nga balina empisa ate nga batya Katonda ,Dr JC Muyingo awanjagidde Bana Uganda

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Bino byogeddwa Minisita Omubeezi ow’ebyenjigiriza namatendekero agawagulu Dr.JC Muyingo bwabadde ku Kyalo Ziroobwe mu town council ye Zirobwe mu Disitulikiti y’e Luweero mu Duuwa yokuziika Musawo Nakabugo Hadijah nga yafudde endwadde ezekuusa ku mutima.

Dr JC Muyingo ngayogerako Eri Abakungubazi

Sheik Uthman Shaban Ngoobi okuva Iganga mu kubulira akutidde abasiraamu bulijjo okufaayo ku biki byebakola nga bakyali kunsi era asinzidde wano nasiima obuwereza bwa Dr. JC Muyingo kunkulakulana ya Luweero era wano amutumye ategeeze Omukulembeze w’eggwanga Yoweri.K. Museveni okukyuka adde mu ddini yobusiraamu.

Sheik uthman Ngoobi kudyo ne Dr Muyingo

Minisita Muyingo akowodde abazadde mu luwumula luno okufaayo okugunjula kko nokuyigiriza abaana baabwe empisa z’omubantu nga bwanyonyola ngagamba nti ngomaze okusomesa omwana nomukolera emaali yonna ekiba kisigadde omuyamba mubulamu byebyo ebyenjawulo byewamusaamu ngomuzadde okuli empisa nokutya katonda.

ALSO READ  china's Japanese seafood imports Drops 67% in August

Abaana Bomugenzi ngabogerako Eri Abakungubazi

Minisita era akutidde banaaluweero okwenyigira mu by’obulimi nga benyigira nemuntekateeka za Gavumenti naddala eya PDM okusobola okwekulakulanya nga bafaayo nokufaayo okuzza omwoyo gwa bulungi bwansi nga agamba ebintu ngenguudo tebyandisanye kwononeka ngabatuuze wakiri bakolengako ebisoboka nga Gavumenti nayo wejja okulima kubanga wezononeka bakosebwa nyo ekintu ekitali kituufu neyeyama okubegattako buli webanakola bulungi bwansi.

Abamu kubakungubazi ngabatudde

Sheik Mubiru ayogedde ku lwa Famire atendereza okwagala maama waabwe kwabadde alina gyebali era yebaziza Dr. JC Muyingo olwokubadukirira nobukadde 4 buyambeko muntekateeka y’okuziika.

👁️👁️👁️ 10712views…

Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending