Connect with us

National News

Abawayiliza Rev Canon Godfrey Kasana Nasazibwamu Basattila Laba bwebasobedwa

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Ensonga za Bishop wa Luweero eyalondebwa nasazibwamu Rev Canon Godfrey Kasana buli lukya zongera kufuuka namulanda ngamabeere Gambwa ngabakulisitaayo balemeddeko kukyokumusabila essaala okutuuka ngatuzidwa,bano Bagamba bamanyi byonna ebyayogerwa kumulabilizi wabwe byali byakumusiiga nzilo nolwekyo kwekweyongela okwekwasa mukama katonda kulwakaseera kayitamu akatali kangu ,okwogera bino babadde bakunganiide kusomero lya Bulemezi SSS ,era okusaba Kuno Rev Kasana akwetabyeko nebamusabila nokunywa Awamu ka Chai Mungeri yokumuzaamu Amanyi.

Tukuze tulaba Rev Kasana ngaweleza katonda nobwesigwa era nga atusabila nolwekyo tulumwa nyo okulaba nga bamusazaamu era tusaba bwenkanya okuva mubakulu Omwami Ssemalulu Samuel Gitta owa Bulemezi SSS Bwategezza “

Kinajukirwa Kasana yalondebwa nebamulangilila kuntandiikwa yomwezi gwokunna omwaka Gunno 2023 era ngayali wakutizibwa omwezi ogwomusanvu omwaka Gunno okusinziila kubaluwa eya Mulukiiko lwabalabilizi “House of Bishop’s ” Wabula wezaali zibula Ssabiti nga 3 atuzibwe bano befulila mukitti ngembazzi bwebakamutema nti asazibwamu ngabasinzila Kumawulire gebafuna nti Ono Alina omukyala ebbali wobufumbo obutukuvu nabaana ekintu Archibishop Dr Samuel Kazimba mugalu kweyasinziila okumusazaamu.

ALSO READ  President Museveni meets,interact with MTN chiefs at Munyonyo Trade Summit

Ebyakazulibwa .Bukyanga kunonyereza kutandiika Kunsonga zomukazi nabaana bebagamba Kasana obujulizi obukakasa byebogeera bukyabuze era Ensonda ezesigika zilaga nga Dr Kazimba naye yakikakasiza ngomukazzi nabaana tebaliiyo byonna ebyayogerwa ku Kasana byabulimba musajja wattu talina musango.Mukaseera Kano church of Uganda Eri mukattu kubanga basala ogwakawala ngatebanawulira gwakalenzi era mbu bakola ekisoboka okukaka Kasana akilize ave kukifo kino naye ye akyelemye kulwensonga jaawa nti Talina musango,Ono nemukyalawe we bataddewo akakwakulizo kangu nyo bwebabalaga omukyala nabaana abebbali abogelwako bakwesonyiwa ekifo kino wabula neguno gwaka ekanisa telina yadde omulema gwelaga.

Mukaseera Kano abaloopa bano Basattila kubanga Babagamba okuleeta obujulizi obukakasa byebogeera tewali yadde olwensonga nti omusango gwalopebwa mu kooti kisoboka okubasinga nebawunziika ngabasibidwa lwakusiiga musajja wa katonda Nzilo.Mukiseera kino abakulisitaayo beddima nemukuwaayo ebilabo Mukanisa ngaluli ensimbi ezaali zikunukiliza eyo mubukadde 50 zezasondebwanga wabula kati zesala okutuuka kubukadde 12 Bagamba bagaala Kasana .

ALSO READ  Breaking News Speaker Of Ugandan parliament AAA gives birth to Twins now Nalongo

Seka Muhammad sengoozi ngoono wa Bukoto Nateete Alombedde Duwa Rev Kasana nagamba abalabe be belinde kubanga gyasomye nkambwe nyo tegenda baleka kyekimu okutuuka ngatuzidwa “Kiluma nyo omuntu omusabi okuba nomutima omubi nokusinga abo abategenda mumasinzizo mukomye enkwe ,mwenenye mitima gyamwe byemukola omutonzi abikyaawa Sheikh Sengoozi bwategezeza” Abakulisitaayo bawadde amagezi abakulu Mukanisa okusaako Rev Kasana nebategeeza nti ne Bishop Ssebagala eyawumula owe Mukono agibweyo mangu ngatanatusibwako bulabe kubanga banyiivu nyo nebakakasa nti bakuzila omuntu Yenna omulala analondebwa ngasi Bishop Kasana kubanga bamulanga bwemage ate katonda gweyabawa

Advertisement

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending