Connect with us

Business

Ababadde Balya Sente za Baavu eza PDM mu Zirobwe Batuyaanye Minisita Muyingo Bwalagidde owa ONC Abakwaate Bibiino.

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Minisita Omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawagulu namatendekero Dr.JC Muyingo alagidde Ssaabakunzi wa ONC mu ttundutundu ly’e Luweero okwatta bona abenyigira mu kujako abantu ensimbi okusobola okubawandiisa okufuna ssente z’emiruka.

Bino Minisita abyogerede mu lukiiko olutuziddwa ku Community Hall ku kitebe kya Town Council y’e Ziroobwe mu District y’e Luweero nga lugendeledwamu okwongera okulondoola nokubangula abantu ku nkola ya Parish Development Model (sente zemiruka) nga lwetabidwako abakulembeze ku mitendera ejenjawulo, bantu mu SACCO za PDM ezenjawulo, kko nakulira Police y’e Ziroobwe ASP Aleni Vicent ne Mayor wa Ziroobwe Town council Paskari Imarach nabalala.

Abantu mu SACCO ezenjawulo balopedde Minisita Muyingo okusomooza kwebasanga mu bakulembeze baabwe nga nabamu babajako sente okubagobera ku mpapula zebajjuza okufuna sente za PDM nga bwe banyonyola.

ALSO READ  Luweero Bitabuse! Bakanyama Ba Bp Ssebagala Bakanze Abakulisitaayo nebadduka Mukanisa Kusande

Bano banokodeyo amanya gaabo bebalumiriza okuli Dauda Nkuggwa eyefuula kayungirizi wa PDM ne Sentamu Joseph councillor wa Ziroobwe North ward.

Oluvanyuma Meeya wa Ziroobwe Town council Paskari Imarach alopedde Minisita ebisomooza ebiri ku nkola ya PDM mu kitundu kyakulembera omuli nabakulembeze ba PDM obutaba nansimbi zibayambako kutambuuza miriimu nga bwanyonyola.

Ye Ssabakunzi wa ONC mu ttundutundu lya Luweero ngate muyambi wa Dr. JC Muyingo e Luweero Abdulkarim Tamale asinzidde wano nalagira akulira Police y’e Ziroobwe ASP Aleni Vicent okwatta bona abenyigira mukujja sente ku bantu mu ngeri y’olukujukujju nga babasubiza okubanguyiza okubafunira ssente za PDM.

ALSO READ  Breaking News !Ex Minister Nyombi Thembo Appointed UCC Ed Takes over from Eng Irene Kaggwa.

Wasswa akutidde abafuna sente zino okwewala okuzijajamya wabula babeko kyebazikolamu nasaba bassenga nemikono ku mpapula ezikakasa sente zebasaba nakuttira abakulembeze okuli ba councillor b’ebitundu okwewala okwenyigira mu mivuyo jjokujako abantu ssente mu ngeri yekikwesikwesi.

Wano Minisita Muyingo ategezeza ngobulyake bwebutakilizibwa munsonga za PDM era buli azanyira musente zino siwakutilwa kuliiso.

Muyingo era akutidde abafuna ssente zino okwewala okuziwasamu abakazi wabula bakolemu ebintu ebitazza nsimbi ate naawa amagezi abatanafuna nsbi zino okubako byebekolera ebivaamu ensimbi nga bayiga nokuteleka ku sente zebababayingizza.

Advertisement

Ng’abayizi abamu bazemu okudda ku massomero, Minister Muyingo akutidde abazadde okussa amanyi mu kuzza abayizi ku massomero kuba luno lwelusoma olusembayo mu mwaka.

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending