Connect with us

Education

Aba S6 Ku Seeta High School Mbalala Babasabidde ,nebawagga nti olwamanyi Ga Katonda bebagenda okusinga mu Uganda.

Ssemaganda Moses Hope

Published

on

Abayizi ba siniya eyomukaaga ku ssomero lya Seeta High Mbalala bawongedwayo mu mikono gya Katonda okubakulembera mu bigezo byabwe ebyakamalirizo.

Omukolo gutandise nakitambiro kya Missa nga kikulembedwa Rev. Fr. Balikudembe Christopher okuva mu kiggo kya Namayamba mu ssaza ly’e Jinja ngayambibwako Chaplain Wa masomero ga Seeta Schools Rev. Fr. Peter Ntege.

Missa yokusabira abayizi yetabidwako abagenyi abenjawulo okubadde abayizi, abasomesa, abazadde, banaddini okuva munzikiriza ezenjawulo awamu nabadukanya essomero lino.

Mukubulira, Rev. Fr. Christopher akutidde abayizi okwekiririzamu kko nokuuma empisa mukadde k’ebigezo.

Balikudembe era akutidde abayizi okuuma empisa muluwumula kko nokwewala okozesa obubi emitimbagano nga wano asabye abazadde okufaayo okulaba nga bagunjula bulungi abaana babwe nga bayigiriza neby’emikono nga bwanyonyola.

ALSO READ  Buvunanyizibwa bwabazadde kyenkanyi okukuuma Abaana Muluwumula, Omutandiisi wa Masomera Ga Hand's of Love Bishop Sebuchu Ajukizza Bana Uganda.

Oluvanyuma banaddini abenjawulo basabidde abayizi omukisa oluvanyuma Rev Fr.Christopher nabamansira namazzi g’omukisa nga nabazadde balabidwako nga bakowoola omutonzi okwatizako abaana babwe okusobola okubawanguza.

Abayizi batonye ebirabo ebikkalu nensimbi enkkalu nga bino byona bikulembeddwamu amazina agenjawulo.

Akulira essomero lya Seeta High Mbalala Bonefance Sebukalu ategezeza nga webatesetese obulungi abayizi babwe nga ku mulundi guno abayizi abasoba mu 200 bagenda kumenya likoodi nga wano Bonefance akakasiza nga Seeta High Mbalala bw’egenda okumegga amasomero gonna mu bigezo bya Siniya eyomukaaga mu ggwanga Uganda.

Sebukalu era annyonyodde ku bintu ebyenjawulo ebigenda okusobozesa abayizi be okuyita obulungi era wano alabudde abayizi mu massomero gonna okwewala obusaasi ng’engeri yokubamu ebigezo wabula abasabye bakozese obwongo bwabwe okusobola okujjuza ebigezo obulungi.

ALSO READ  ABAZADDE MUZEEYO ABAANA MUMASOMERO MINISITA MUYINGO ALABUDDE KUBAGENDA OVUNANIBWA

Chaplain w’amassomero ga Seeta Rev. Fr. Peter Ntege ategezeza ng’abayizi webatukiriza empisa kko nobulombo bweddini nga bekwasa Katonda ne Maama Maria nga wano naye alina okukiriza nti Katonda awulira esaala zaabwe era agenda zanukula okusinzira ku buly’omu kyamusaba.

Abayizi nabo bewela okussa munkola abasomesa babwe byebabasomeseza nga bakiliiriza be mu Katonda agenda okubawanguza.

Advertisement


Bano basiimye ba Diyilekita babwe okuli Dr. JC Muyingo ne Maama Rose Muyingo olwokubalera obulungi era bakakasiza nga webagenda okubassa akaseko kumatama ngebigezo bikomyewo nga babiwusse buvva.

Abazadde nabo bakiririza mu Seeta High Mbalala nga weyeliisa enkkuli mu kuyisa abayizi naye nga omwaka guno balabawo ekyenjawulo nti abayizi bakukikubira waggulu nga enjogera yennaku zino bwegamba.

ALSO READ  Class of 1995,the Airtel IPO is here David Birungi empowers Generation.

Ssemaganda Moses Hope I'm Writter, Anchor, presenter, Influencer in both Mainstream and Social Media Sector, working with Success Tv,Fm, kampalamediatv and Dema Gospel Promotion. To reach me contact 0705847474 Email mozeshope@gmail.com

Advertisement
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Advertisement
Advertisement

Trending